Proverbs 14

1 aOmukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,
naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.

2Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama,
naye ow’amakubo amakyamu anyooma Mukama.

3 bEbigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa,
naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.

4Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu,
naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.

5 cOmujulizi ow’amazima talimba,
naye ow’obulimba ayogera bya bulimba.

6Omukudaazi anoonya amagezi n’atagalaba,
naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera.

7Teweeretereza muntu musirusiru,
kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke.

8 dOmutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola,
naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.

9Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi,
naye abalongoofu baagala emirembe.

10Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo,
tewali ayinza kugusanyukirako.

11 eEnnyumba y’abakozi b’ebibi erizikirizibwa,
naye eweema y’abatuukirivu erikulaakulana.

12 fWaliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu,
naye ng’enkomerero yaalyo kufa.

13 gEnseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku,
era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.

14 hOmuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye,
n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.

15Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira,
naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.

16 iOmuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi,
naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.

17 jOmuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru,
n’omukalabakalaba akyayibwa.

18Abatalina magezi basikira butaliimu,
naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya.

19 kAbakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu,
n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu.

Omugagga n’Omwavu


20 lOmwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu,
naye abagagga baba n’emikwano mingi.

21 mAnyooma muliraanwa we akola kibi,
naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.

22Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba?
Naye okwagala n’amazima binaabeeranga n’abo abateesa okukola obulungi.

23Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba,
naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.

24Abagezi bafuna engule ey’obugagga,
naye obusirusiru bw’abatalina magezi buzaala busirusiru.

25 nOmujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu,
naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba.

26 oAtya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi,
era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.

27 pOkutya Mukama ye nsulo y’obulamu,
kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.

28Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi,
naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi.

29 qOmuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi,
naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.

30 rOmutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu,
naye obuggya buvunza amagumba ge.

31 sOmuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda,
naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.

32 tAkacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa,
naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro.

33 uAmagezi gabeera mu mutima gw’omuntu alina okutegeera,
era yeeyoleka ne mu basirusiru.

34 vObutuukirivu buzimba eggwanga,
naye ekibi kiswaza abantu ab’engeri zonna.

35 wKabaka asanyukira omuddu akola eby’amagezi,
naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.
Copyright information for LugEEEE